Jeremiah 10:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasumba be baali ababuyabuya; tebeebuuza ku Mukama; ebintu bwe butabaamu mukisa, n'eggana lyabwe lyonna kwe kubuna emiwabo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga abasumba bafuuse ng’ensolo tebakyebuuza ku Mukama. Noolwekyo tebakulaakulana era endiga zaabwe zonna zisaasaanye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga abasumba basirusiru, so tebabuuzizza Mukama; kyebavudde balema okulaba omukisa, n'ebisibo byabwe byonna bisaasaanye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakulembeze basiruwadde obuteebuuza ku Mukama, kye kibaviirako okulemwa, be batwala ne basaasaana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga abasumba bafuuse ng'ensolo, so tebabuuzizza Mukama: kyebavudde balema okulaba omukisa, n'embuzi zaabwe zonna zisaasaanye.