Jeremiah 10:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmanyi, ayi Mukama, nti omuntu si ye nnannyini makubo ge; ye tasobola ng'atambula okulambika amagendere ge.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mmanyi Ayi Mukama Katonda ng’obulamu bw’omuntu si bubwe, omuntu si y’aluŋŋamya amakubo ge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi Mukama, mmanyi ng'ekkubo ery'omuntu teriri mu ye yennyini; tekiri mu muntu atambula okuluŋŋamyanga ebigere bye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmanyi, ayi Mukama, ng'obulamu bw'omuntu tebuli mu buyinza bwe, era nga tewali ayinza kweruŋŋamya yekka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai Mukama, mmanyi ng'ekkubo ery'omuntu teriri mu ye yennyini: tekiri mu muntu atambula okuluŋŋamyanga ebigere bye.