Jeremiah 10:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ngolola, ayi Mukama, naye ng'obalira; si na busungu, sikulwa ng'onfuula akasirikitu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnuŋŋamya, Mukama Katonda naye mu kigera ekisaanidde, si mu busungu bwo, si kulwa ng’onfuula ekitaliimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi Mukama, ombuulire, naye mpola; si lwa busungu bwo oleme okunzikiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tugolole, ayi Mukama, naye tokambuwala nnyo. Tobonereza na busungu, oleme kutusaanyaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai Mukama, ombuulire, naye mpola; si lwa busungu bwo oleme okunzikiriza.