Jeremiah 10:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bundula obusungu bwo ku mawanga agatakumanyi, ne ku bika ebitakoowoola linnya lyo; kubanga baalya Yakobo, baamulya ne bamumalawo, awaka we ne baleka nga matongo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yiwa obusungu bwo ku mawanga agatakumanyi, agatakutwala ng’ekikulu, ku bantu abatakoowoola linnya lyo. Kubanga bamazeewo Yakobo, bamuliiridde ddala era ne boonoona ensi ye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Fukira ddala ekiruyi kyo ku b'amawanga abatakumanyi, ne ku bika ebitakoowoola linnya lyo; kubanga balidde Yakobo, weewaawo, bamulidde era bamumize, bamumazeewo, bazisizza ekifo mw'abeera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amawanga agatakusinza g'oba osunguwalira n'abantu abakweggyako, kubanga basse abantu bo, babasaanyirizzaawo ddala, ensi yaffe esigadde matongo!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Fukira ddala ekiruyi kyo ku b'amawanga abatakumanyi, ne ku bika ebitakoowoola linnya lyo: kubanga balidde Yakobo, weewaawo, bamulidde, bamumazeewo, bazisizza ekifo kye mw'abeera.