Jeremiah 10:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga amateeka g'abantu temuli kantu: batema omuti mu kibira, ne guwoolwa n'ensinjo mu mikono gy'omubazzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga empisa ez’amawanga tezigasa; batema omuti mu kibira, omubazzi n’aguyooyoota n’ebyuma bye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga empisa ez'amawanga, nkyamu. Omuti okuva mu kibira gutemebwa, era ne gukolebwako n'embazzi, n'omukono gw'omukozi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga empisa z'ab'amawanga ago, teziriiko kye zigasa. Omuntu atema omuti mu kibira, omufundi n'agubajja bulungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga empisa ez'amawanga teziriiko kye zigasa: kubanga wabaawo omu atema omuti mu kibira, omulimu ogw'emikono gy'omukozi n'embazzi.