Jeremiah 10:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Biri nga bukasajjaffuba mu nnimiro ya wujju; tebyogera, bisitulibwa busitulibwa kubanga tebisobola kutambula. Muleke kubitya, kubanga tebiyinza kukola kabi, yadde okubaako akalungi ke bikola.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakatonda bafaanana nga ssemufu mu nnimiro y’ebibala, era tebasobola kwogera kubanga basitulwa busitulwa tebasobola kutambula. Tobatya, tebayinza kukukola kabi konna, wadde okukola akalungi n’akamu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebifaananyi byabwe bifaanana obufaananyi obukanga obuteekebwa mu nnimiro era tebyogera, basitula bisitule kubanga tebiyinza kutambula. Temubityanga; kubanga tebiyinza kukola bubi so n'okukola obulungi tekuli mu byo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebifaananyi eby'engeri eyo, biri ng'ebyo bye bateeka mu nnimiro okukanga ebinyonyi, era tebiyinza kwogera. Babisitula busituzi, kubanga tebiyinza kutambula. Temubityanga, kubanga tebiyinza kubakolako kabi, wadde okubakolera akalungi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bifaanana olukoma oluliko enjola so tebyogera: tebirema kusitulibwa kubanga tebiyinza kutambula. Temubityanga; kubanga tebiyinza kukola bubi so n'okukola obulungi tekuli mu byo.