Jeremiah 10:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aluwa ataakutye, ayi Kabaka w'amawanga? Ggwe wamma ekitiibwa kikugwanira. Kubanga mu bagezi bonna ab'amawanga ne mu bwakabaka bwabwe bwonna, temuli akufaanana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ani ataakutye, Ayi Kabaka w’amawanga? Kubanga kino kye kikugwanira. Kubanga mu bagezigezi bonna bannaggwanga ne mu bwakabaka bwabwe bwonna tewali ali nga ggwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ani atandikutidde, ayi Kabaka w'amawanga? Kubanga kukugwanira ggwe; kubanga mu bagezigezi bonna ab'amawanga ne mu kitiibwa kyabwe kyonna ekya bakabaka temuli akufaanana ggwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ani atasaanye kukussaamu kitiibwa, ggwe Kabaka w'amawanga? Ogwanira okussibwamu ekitiibwa, kubanga mu bagezi bonna abali mu mawanga, ne mu bakabaka baabwe bonna, tewali ali nga ggwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ani atandikutidde, ai Kabaka w'amawanga? kubanga kukugwanira ggwe: kubanga mu bagezigezi bonna ab'amawanga ne mu kitiibwa kyabwe kyonna ekya bakabaka temuli akufaanana ggwe.