Jeremiah 10:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ffeeza omukubeekube aggyibwa e Tarusisi, ne zaabu ow'e Wufazi, omulimu gw'omubazzi n'omufukusi wa zaabu; Olwo byambazibwa kakobe n'ebimyufu; byonna bikolwa abakozi abakugu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ffeeza eyaweesebwa ey’empewere eggyibwa e Talusiisi, ne zaabu eva e Yufazi, ffundi n’omuweesi wa zaabu bye bakoze byambazibwa engoye eza kaniki ne z’effulungu. Gino gyonna mirimu gy’abasajja abakalabakalaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ffeeza eyaweesebwa okuba ey'empewere eyaggibwa e Talusiisi, ne zaabu eyava e Yufazi, omulimu ogwa fundi, n'ogw'emikono gy'omuweesi wa zaabu, abakugu; babyambaza kaniki n'olugoye olw'effulungu okuba ebyambalo byabyo; byonna mulimu gw'abasajja abakalabakalaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebifaananyi ebyo, babibikkako ffeeza eyaweesebwa n'aba wa luwewere, gwe baggya e Tarusiisi, ne zaabu gwe baggya e Yufazi, akoleddwa abakugu. Babyambaza engoye eza kakobe n'emmyufu, ezikoleddwa abalusi b'engoye abakugu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Waliwo ffeeza eyaweesebwa okuba ey'empewere eyaggibwa e Talusiisi, ne zaabu eyava e Yufazi, omulimu ogwa fundi, n'ogw'emikono gy'omuweesi wa zaabu; kaniki n’olugoye olw'effulungu okuba ebyambalo byabyo; byonna mulimu gwa basajja abakabakaba.