Jeremiah 11:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bazzeeyo mu bibi bya bajjajjaabwe abaagaana okuwulira ebigambo byange. Na bano bagoberedde balubaale ne babaweereza. Ennyumba ya Yisirayeli n'ennyumba ya Yuda bamenye endagaano yange gye nakola ne bajjajjaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bazzeeyo mu butali butuukirivu bwa bajjajjaabwe abaagaana okugoberera ebigambo byange. Bagoberedde bakatonda abalala ne babaweereza. Ennyumba zombi eya Isirayiri n’eya Yuda zimenye endagaano gye nakola ne bajjajjaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bakyuse okudda mu butali butuukirivu bwa bajjajjaabwe abaagaana okuwulira ebigambo byange; era bagoberedde bakatonda abalala okubaweerezanga, ennyumba ya Isiraeri n'ennyumba ya Yuda bamenye endagaano yange gye nnalagaana ne bajjajjaabwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bazzeeyo mu bibi bya bajjajjaabwe, abaagaana okuwulira bye mbagamba. Bazze mu kuweereza balubaale. Ab'omu Yisirayeli, n'ab'omu Buyudaaya, bamenye endagaano gye nakola ne bajjajjaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bakyuse okudda mu butali butuukirivu bwa bajjajjaabwe abaagaana okuwulira ebigambo byange; era bagoberedde bakatonda abalala okubaweerezanga: ennyumba ya Isiraeri n'ennyumba ya Yuda bamenye endagaano yange gye nnalagaana ne bajjajjaabwe.