Jeremiah 11:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebibuga bya Yuda n'abo abali mu Yeruzaalemu baliraajanira balubaale be banyookeza obubaani, naye tebalina kye balibayambamu ng'akabi katuuse.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebibuga bya Yuda n’abantu ba Yerusaalemi bajja kugenda bakaabirire bakatonda baabwe be bootereza obubaane, naye tebaabayambe n’akamu nga bali mu nnaku.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ebibuga bya Yuda n'abo abali mu Yerusaalemi baligenda ne bakaabirira bakatonda be bootereza obubaane; naye tebasobola n'akamu kubalokola mu biro mwe balabira ennaku.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abantu b'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu, baligenda ne bakaabirira balubaale, be bootereza obubaane. Naye tebalisobola kubawonya mu biseera eby'obuyinike.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ebibuga bya Yuda n'abo abali mu Yerusaalemi baligenda ne bakaabirira bakatonda be bootereza obubaane: naye tebalibalokolera n'akamu mu biro mwe balabira ennaku.