Jeremiah 11:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Yuda, balubaale bo benkana n'ebibuga byo obungi, n'emyaliiro gy'ozimbye okwokerako ekyensonyi obubaani, kwe kugamba, emyaliiro gy'ozimbidde Baali, gyenkana n'enguudo z'omu Yeruzaalemu obungi.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mulina bakatonda abenkana ebibuga byammwe obungi, ggwe Yuda; n’ebyoto bye mukoze okwoterezaako obubaane eri Baali byenkana enguudo za Yerusaalemi obungi.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ba katonda bammwe bafuuse bangi, nga ebibuga byammwe nga bwe byenkana obungi, ayi Yuda; era ng'enguudo ez'e Yerusaalemi bwe zenkana obungi, bwe mutyo bwe muzimbye ebyoto ekintu ekikwasa ensonyi, ebyoto eby'okwoterezangako obubaane eri Baali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu b'omu Buyudaaya balina balubaale, abenkana ebibuga byabwe obungi. N'ab'omu Yerusaalemu, bazimbye alutaari ezenkana enguudo z'omu kibuga kyabwe obungi, nga za kwoterezaako bubaane eri Baali, lubaale eyeenyinyalwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ebibuga byammwe bwe byenkana obungi, ne bakatonda bo bwe benkana bwe batyo, ai Yuda; era ng'enguudo ez'e Yerusaalemi bwe zenkana obungi, bwe musimbidde bwe mutyo ebyoto ekintu ekikwasa ensonyi, ebyoto eby'okwoterezangako obubaane eri Baali.