Jeremiah 11:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omwagalwa wange akola ki mu nnyumba yange, ate ng'ateesa enkwe nnyingi ate embi? Bye weetema n'ennyama emponge binaawugula akabi okuva w'oli? Osobola okusanyuka?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omwagalwa akola ki mu yeekaalu yange ng’ate akoze eby’ekivve? Okuwaayo ssaddaaka kuyinza okukuggyako ekibonerezo ekijja? Okola ebibi n’olyoka ojaguza!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Muganzi wange alina buyinza ki mu nnyumba yange nga akoze ebikolwa ebiswaza? Ebirayiro n'okuwaayo omubiri nga ssaddaaka biyinza okukyusa okuzikirira kwo? Oyinza okusanyuka olw'ebyo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu be njagala, bakoze ebibi. Bakyasaanira batya okubeera mu Ssinzizo lyange? Obweyamo n'ebitambiro eby'ensolo binaabayamba? Olwo lwe banaasanyuka?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muganzi wange afaayo ki mu nnyumba yange, kubanga akoze eby'obukaba n'abangi, n'omubiri omutukuvu gukuvuddeko? bw'okola obubi lw'osanyuka.