Jeremiah 11:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
'Oliva engimu, erembedde ebibala ebirungi', lye linnya Omukama lye yakuyita. Naye n'okuyira kw'omuyaga ogw'amaanyi, aligyokya omuliro, n'amatabi gaayo ne gamenyeka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama yakutuuma Omuzeyituuni ogubala ennyo, oguliko ebibala ebirungi. Naye ajja kugukumako omuliro n’okuwuuma okw’omuyaga ogw’amaanyi, amatabi gaagwo gakutuke.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama yakutuuma erinnya nti, Omuzeyituuni ogwera, omulungi nga guliko ebibala ebirungi; naye n'eddoboozi ery'oluyoogaano olunene agukumyeko omuliro, amakoola gagwo gayidde n'amatabi gaagwo gamenyese.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waliwo lwe nabayitanga omuti omuzayiti oguliko amakoola amalungi, n'ebibala ebirungi. Naye kaakano, nja kubwatuka nga laddu, ngukumeko omuliro, amatabi gaagwo gaggye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama yakutuuma erinnya nti Omuzeyituuni ogwera, omulungi nga guliko ebibala ebirungi: n'eddoboozi ery'oluyoogaano olunene agukumyeko omuliro, n'amatabi gaagwo gamenyese.