Jeremiah 11:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso nze nali ng'endiga eŋŋonvu gye batwala mu bbaagiro, nga sitegedde nkwe ze baali bansalira, nga bagamba nti: “Omuti tugutte nga gwakabala; tumwerewo ku nsi y'abalamu, erinnya lye lireme kuddamu kujjukirwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnali ng’omwana gw’endiga gwe batwala okuttibwa. Nnali simanyi nga nze gwe baali balyamu olukwe, nga bagamba nti, “Ka tuzikirize omuti n’ekibala kyagwo, ka tumutemere ddala ave ku nsi y’abalamu, erinnya lye lireme okuddayo okujjukirwa n’akatono.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye nali ng'omwana gw'endiga omuwombeefu ogutwalibwa okuttibwa; so ssaamanya nga bansalidde enkwe, nga boogera nti, “Tuzikirize omuti wamu n'ebibala byagwo, tumuzikirize okuva mu nsi ey'abalamu, erinnya lye baleme okulijjukira nate.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nali ng'omwana gw'endiga omuwombeefu, ogutwalibwa, nga simanyi nti nze basalidde enkwe, nga bagamba nti: “Tuteme omuti nga gukyali mulamu. Tumutte, waleme kubaawo bongera kumujjukira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye nali ng'omwana gw'endiga omuwombeefu ogutwalibwa okuttibwa; so saamanya nga bansalidde enkwe, nga boogera nti Tuzikirize omuti wamu n'ebibala byagwo, tumuzikirize mu nsi ey'abalamu, erinnya lye baleme okulijjukira nate.