Jeremiah 11:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Mukama w'Amagye, asala mu butuufu, eyekenneenya omutima n'emmeeme, mpa ndabe bw'owoolera eggwanga ku bo, kubanga ggwe gwe nakwasa ensonga zange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ggwe Mukama Katonda ow’Eggye, alamula mu bwenkanya, agezesa omutima n’ebirowoozo, ka ndabe bw’obawoolera eggwanga, kubanga ggwe gwenkwasizza ensonga yange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye, ayi Mukama w'eggye, asala emisango egy'ensonga, akema emmeeme n'omutima, ka ndabe eggwanga ly'oliwalana ku bo, kubanga gwe ntegeezezza ensonga zange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye, ayi Mukama Nnannyinimagye, ggwe mulamuzi omwenkanya, ageza ebirowoozo n'emitima gy'abantu. Ggwe nkwasizza ensonga zange. Ka nninde ndabe bw'owoolera eggwanga ku bantu bano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye, ai Mukama w'eggye, asala emisango egy'ensonga, akema emmeeme n'omutima ndabe eggwanga ly'oliwalana ku bo: kubanga ggwe ntegeezezza ensonga yange.