Jeremiah 11:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama nno kino ky'agamba abantu b'e Anatoti abanoonya okukutta nga bagamba nti: ‘Tolanganga mu linnya lya Mukama, oba si ekyo ojja kufa nga tukwettira n'emikono gyaffe.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda ku basajja b’e Anasosi abanoonya obulamu bwo nga bagamba nti, “Totubuulira bunnabbi mu linnya lya Mukama, tuleme okukutta.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama kyava ayogera bw'ati eby'abasajja aba Anasosi abanoonya obulamu bwo nga boogera nti, “Toyogereranga mu linnya lya Mukama, omukono gwaffe guleme okukutta,”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bino Mukama by'agamba ab'omu Anatooti, abaagala okunzita, nga bagamba nti: “Bw'onoolagula ku lwa Mukama, tujja kukutta.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama kyava ayogera bw'ati eby'abasajja aba Anasosi abanoonya obulamu bwo nga boogera nti Tolaguliranga mu linnya lya Mukama, omukono gwaffe guleme okukutta: