Jeremiah 11:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'olw'ekyo Omukama w'Amagye kino ky'agamba: ‘Nze nzija kubabonereza; abavubuka baabwe balifa ekitala; batabani baabwe ne bawala baabwe balifa enjala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Laba, nzija kutta abavubuka n’ekitala; ne batabani baabwe n’abawala bafe enjala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama w'eggye kyava ayogera bw'ati nti, “Laba, ndibabonereza; abavubuka bammwe balifa kitala; batabani baabwe ne bawala baabwe balifa njala;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Nja kubabonereza. Abavubuka baabwe balittirwa mu lutalo, abaana baabwe abalenzi n'abawala balifa enjala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama w'eggye kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndibabonereza: abavubuka balifa kitala; batabani baabwe ne bawala baabwe balifa njala;