Jeremiah 11:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu bo tewaliba asigalawo, kubanga nzija kuleetera abantu b'e Anatoti akabi mu mwaka ogw'okubonerezebwa kwabwe.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
So tewaliba n’omu alisigalawo, kubanga ndireeta akabi ku basajja b’e Anasosi, mu mwaka gwe ndibabonererezaamu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
so tewaliba n'omu alifikkawo. Kubanga ndireeta obubi ku basajja abe Anasosi, mu mwaka ogw'okubabonererezaamu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ntaddewo ekiseera kye ndituusizaako abantu b'omu Anatooti akabi, era ekiseera ekyo bwe kirituuka, ku bo tekuliba awonawo n'omu. Nze Mukama, Nze njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
so tebaliba na balifikkawo: kubanga ndireeta obubi ku basajja aba Anasosi, gwe mwaka mwe balijjirirwa.