Jeremiah 11:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bagambe nti: ‘Omukama Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba: “Oyo atawulira bigambo bya ndagaano eno, avumirirwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bagambe nti, “Bw’ati Mukama Katonda wa Isirayiri bw’ayogera nti, ‘Akolimiddwa omuntu atagondera bigambo by’endagaano eno
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, akolimirwe omusajja yenna atawulira bigambo bya ndagaano eno,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nti Nze Mukama, Katonda wa Yisirayeli, nkolimidde buli muntu atagondera bigambo bya ndagaano eno,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Omusajja akolimirwe atawulira bigambo bya ndagaano eno,