Jeremiah 11:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bye bigambo bye nakuutira bajjajjammwe ku lunaku lwe nabaggya mu nsi y'e Misiri, mu kabiga k'essasa. Nabagamba nti: “Muwulire eddoboozi lyange; mukole byonna bye mbalagira; olwo lwe munaabeera bantu bange, nange ndibeera Katonda wammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
bye nalagira bakitammwe bwe nabaggya mu nsi y’e Misiri, okuva mu kikoomi ky’omuliro.’ Nabagamba nti, ‘Muŋŋondere era mukole ebintu byonna nga bwe mbalagira, munaabeeranga bantu bange, nange nnaabeeranga Katonda wammwe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
gye n'alagira bajjajjammwe ku lunaku lwe nnabaggya mu nsi y'e Misiri, mu kikoomi eky'ekyuma, ne njogera nti Muwulire eddoboozi lyange, mukolenga byonna bwe biri bye mbalagira; bwe mutyo bwe munaabanga abantu bange, nange n'abanga Katonda wammwe,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
gye nakola ne bajjajjaabwe, bwe nabaggya mu nsi y'e Misiri, eyali ebafuukidde ng'ekyoto eky'ekyuma ekyengeredde omuliro. Nabagamba nti: ‘Mumpulirenga era mukolenga bye mbalagira.’ Nabagamba nti bwe banampuliranga, banaabanga bantu bange, Nze ne mba Katonda waabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
gye nnalagirira bajjajjammwe ku lunaku kwe nnabaggira mu nsi y'e Misiri, mu kikoomi eky'ekyuma, nga njogera nti Mugonderenga eddoboozi lyange mubikolenga nga byonna bwe biri bye mbalagira: bwe mutyo bwe munaabanga abantu bange, nange naabanga Katonda wammwe: