Jeremiah 11:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo ndituukiriza ebirayiro bye nalayirira bajjajjammwe, okubawa ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, nga bwe kiri kati.” ’ ” Awo ne nziramu nti: “Amiina, ayi Mukama.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ndyoke ntuukirize ekirayiro kye nalayirira bajjajjammwe, okubawa ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, ensi gye mulimu leero.’ ” Awo ne nziramu nti, “Kibeere bwe kityo Mukama.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ndyoke nnywezenga ekirayiro kye nnalayirira bajjajjammwe, okubawa ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, nga bwe kiri leero.” Awo ne ndyoka nziramu ne njogera nti, “ Amiina, ayi Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo nnaatuukirizanga kye n'asuubiza bajjajjaabwe, nti ndibawa ensi engimu, era gye balimu kaakano.” Awo nze ne nziramu nti: “Weewaawo, ayi Mukama.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ndyoke nnywezenga ekirayiro kye nnalayirira bajjajjammwe, okubawa ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki nga leero. Awo ne ndyoka nziramu ne njogera nti Amiina, ai Mukama.