Jeremiah 11:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate Omukama n'aŋŋamba nti: “Langirira ebigambo bino byonna mu bibuga bya Yuda ne mu mpya za Yeruzaalemu nti: ‘Muwulire ebigambo by'Endagaano eno, mubituuse.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’aŋŋamba nti, “Langirira ebigambo bino byonna mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo za Yerusaalemi. ‘Muwulire ebigambo by’endagaano era mubikole.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mukama n'aŋŋamba nti, “Langirira ebigambo bino byonna mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi ng'oyogera nti, Muwulire ebigambo eby'endagaano eno era mubikole.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Genda olangirire bino byonna mu bibuga bya Buyudaaya, ne mu nguudo za Yerusaalemu, otegeeze abantu nti: ‘Muwulire ebigambo by'endagaano eno, era mubikolereko.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Mukama n'aŋŋamba nti Langirira ebigambo bino byonna mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi ng'oyogera nti Muwulire ebigambo eby'endagaano eno mubikole.