Jeremiah 11:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nalabula bajjajjammwe lwe nabaggya mu Misiri, ne nzija nga mbalabula buli olukedde n'okutuusa ku lunaku lwa leero nti: “Mugondere eddoboozi lyange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuva lwe naggya bajjajjammwe mu Misiri okutuusa leero, mbakuutidde emirundi mingi nga mbagamba nti, “Muŋŋondere.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga nnalabulira ddala bajjajjammwe ku lunaku lwe nnabaggya mu nsi y'e Misiri; ne mbalabula obutasalako n'okutuusa leero, nga njogera nti, Mugondere eddoboozi lyange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe naggya bajjajjaabwe mu nsi y'e Misiri, nabakuutira okumpuliranga, era nkyabakuutira n'okutuusa kaakano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga nategeereza ddala bajjajjammwe ku lunaku kwe nnabaggira mu nsi y'e Misiri ne leero, nga ngolokoka mu makya era nga ntegeeza, nga njogera nti Mugondere eddoboozi lyange.