Jeremiah 11:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye tebaawulira, yadde okufaayo, wabula buli omu yagoberera obukakanyavu n'obugwenyufu bw'omutima gwe. Kyennava ntuukiriza ku bo ebigambo byonna eby'endagaano eno, gye nali mbalagidde okugoberera ne batagigoberera.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye tebampuliriza wadde okussaayo omwoyo, wabula buli muntu yeeyongera okutambulira mu bukakanyavu bw’omutima gwe omubi. Ne ndyoka mbaleetako ebikolimo byonna ebiri mu ndagaano gye nabalagira okukwata ne batagikwata.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ne batagonda so tebaatega kutu kwabwe, naye ne batambulira buli muntu mu bukakanyavu bw'omutima gwe omubi; kyennava mbaleetako ebigambo byonna eby'endagaano eno, gye nnabalagira okukolanga, naye ne batabikola.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye tebawuliriza era tebawulira, wabula buli omu ayongera kugoberera mutima gwe omukakanyavu era omubi. Nabalagira okukuumanga endagaano eno, naye bo ne bagaana. Kyennava mbatuusaako ebibonerezo byonna ebyogerwako mu yo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ne batagonda so tebaatega kutu kwabwe, naye ne batambulira buli muntu mu bukakanyavu bw'omutima gwabwe omubi: kyennava mbaleetako ebigambo byonna eby'endagaano eno, gye nnabalagira okukolanga, naye ne batabikola.