Jeremiah 12:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oli mutuukirivu, ayi Mukama, ndeese ensonga zange mu maaso go; kyokka nandyagadde nkubuuze ku ngeri gy'olamulamu: Lwaki ekkubo ly'ababi lirama? Lwaki bonna abalimba bali mirembe?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bulijjo oba mutuukirivu, Ayi Mukama Katonda, bwe nkuleetera ensonga yange. Noolwekyo nnaaleeta ensonga yange gy’oli. Lwaki abakozi b’ebibi baba mu kwesiima? Lwaki abalimbalimba bonna baba mu bulamu obw’emirembe?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oli mutuukirivu, ayi Mukama, ne bwe nkwemulugunyiza, naye era nnandibadde mpoza ensonga yange mu maaso go. Lwaki ekkubo ery'ababi liraba omukisa? Lwaki abalimbalimba bakulakulana?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Singa mpakana naawe, ggwe obeera omutuufu. Naye era ka njogereko naawe ku bwenkanya bwo. Lwaki ababi bali bulungi? Lwaki abakumpanya bali mirembe?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oli mutuukirivu, ai Mukama, bwe mpoza naawe: naye era nandibadde ne kye nkunnyonnyolayoko: ekkubo ery'ababi lirabira ki omukisa? batereerera ki abo bonna abalimbalimba ennyo?