Jeremiah 12:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Efuuliddwa ddungu, matongo, enkaabirira. Ensi yonna efuuse matongo, kubanga mpaawo n'omu agissaako mutima.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eyonooneddwa efuuse ddungu esigadde awo ng’enkaabirira. Ensi yonna efuuse matongo kubanga tewali muntu n’omu agifaako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bagufudde matongo; guwuubala gye ndi nga gulekeddwayo; ensi yonna efuuse matongo, kubanga tewali muntu agissako mwoyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bagifudde matongo, ensiko obusiko gye ntunulako. Ensi yonna efuuse matongo, naye tewali afaayo!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bagufudde matongo; guwuubaala gye ndi nga gulekeddwayo; ensi yonna efuuse matongo, kubanga tewali muntu agissaako mwoyo.