Jeremiah 12:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baasiga ŋŋano, naye bakungudde maggwa; beekooya, naye tebalifunamu mugaso. Amakungula gaabwe galibakwasa ensonyi, olw'okwesera kw'obusungu bw'Omukama.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Basize eŋŋaano, ne bakungula amaggwa. Bakooyedde bwereere ne bataba na kebaggyamu. Bakwatiddwa ensonyi olw’ebibala bye bakunguddeyo, kubanga ebyo Mukama y’abikoze olw’obusungu bwe obungi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Basiga eŋŋaano, naye bakungudde amaggwa; beerumya bo bennyini, so tebaliiko kye bagasiddwa, era balikwatibwa ensonyi olw'ebikungulwa byabwe, olw'obusungu bwa Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baasiga eŋŋaano, bakungudde maggwa. Bateganye nnyo, ne batafunamu mugaso. Olw'obusungu bwange obungi, ebirime byabwe bifudde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Basiga eŋŋaano, bakungudde amaggwa; beerumya bo bennyini, so tebaliiko kye bagasizza: era mulikwatibwa ensonyi olw'ebibala byammwe olw'ekiruyi kya Mukama.