Jeremiah 12:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba: “Ku baliraanwa bange bonna ababi abaawamba obusika bwe nawa abantu bange Yisirayeli, ŋŋenda kubasimbula mu nsi yaabwe, n'ennyumba ya Yuda ndigisimbula mu makkati gaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ebikwata ku baliraanwa bange ababi nga bifa ku mugabo gwe nawa abantu bange Isirayiri okuba ogwabwe, laba ndibasiguukulula okuva mu nsi yaabwe, era ndiggya ennyumba ya Yuda mu bo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama ku bikwata ku baliraanwa bange bonna ababi abakwata obusika bwe nawa abantu bange Isiraeri okubusikira nti, “ Laba, ndibasimbula mu nsi yaabwe, era ndisimbula n'ennyumba ya Yuda wakati mu bo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Nnina kye ŋŋamba ku baliraanwa ba Yisirayeli, abaayonoona ensi gye nawa abantu bange Abayisirayeli. Abantu abo ababi ndibaggya mu nsi zaabwe ng'ekimera ekikuuliddwa, era ndiggya Buyudaaya mu mikono gyabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama eri baliraanwa bange bonna ababi abakoma ku busika bwe nnasisa abantu bange Isiraeri nti Laba, ndibasimbula mu nsi yaabwe, era ndisimbula ennyumba ya Yuda wakati mu bo.