Jeremiah 12:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka bwe ndimala okubasimbula, ndiddamu ne mbakwatirwa ekisa, ne mbazzaayo buli omu mu busika bwe, buli omu mu nsi yaboobwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye nga mmaze okubasiguukululamu, ndibakwatirwa ekisa ne mbakomyawo buli omu eri omugabo gwe mu nsi ye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olulituuka bwe ndiba nga mmaze okubasimbula, ndikomawo ne mbakwatirwa ekisa; era ndibakomyawo buli muntu mu busika bwe na buli muntu mu nsi y'ewaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bwe ndimala okubaggya mu nsi zaabwe, ndiddamu okubakwatirwa ekisa. Ndikomyawo buli ggwanga mu kitundu kyalyo, ne mu nsi yaalyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka bwe ndiba nga mmaze okubasimbula, ndikomawo ne mbakwatirwa ekisa; era ndibakomyawo buli muntu mu busika bwe na buli muntu mu nsi y'ewaabwe.