Jeremiah 12:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate bwe balinyiikira okukwata amakubo g'abantu bange, ne balayira mu linnya lyange nti: ‘Mazima Omukama nga mulamu!’ newandibadde nga baayigiriza abantu bange okulayira Baali, olwo balikkalira wakati mu bantu bange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era nga bwe bayigiriza abantu bange okulayirira mu linnya lya Baali bwe batyo balikwatira ddala empisa z’abantu bange, okulayirira mu linnya lyange nga boogera nti, ‘Nga Mukama bw’ali omulamu,’ olwo balizimbibwa wakati mu bantu bange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olulituuka bwe balinyiikira okuyiga amakubo g'abantu bange, n'okulayira erinnya lyange nti, ‘Nga Mukama bw'ali omulamu;’ era nga bwe baayigirizanga abantu bange okulayira Baali; kale balizimbibwa wakati mu bantu bange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ate bwe balinyiikira okuyiga empisa z'abantu bange, ne balayiranga nti: ‘Nga Mukama bw'ali omulamu,’ nga bwe baayigiriza abantu bange okulayiranga lubaale Baali, olwo baliba kitundu kya bantu bange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka bwe balinyiikira okuyiga amakubo g'abantu bange, okulayira erinnya lyange nti Nga Mukama bw'ali omulamu; era nga bwe baayigirizanga abantu bange okulayira Baali; kale balizimbibwa wakati mu bantu bange.