Jeremiah 12:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bwe walibaawo eggwanga eritaliwulira, ndirisimbulira ddala ne ndizikiriza,”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye eggwanga bwe litalissaayo mwoyo, ndirisiguukulula ne ndisaanyizaawo ddala,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye eggwanga lyonna bwe litalikkiriza kuwulira, awo ndirisimbulira ddala, era ne ndizikiriza, bw'ayogera Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye eggwanga eririgaana okuwulira, ndiriggyirawo ddala, ne ndizikiriza. Nze Mukama, Nze njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe batalikkiriza kuwulira, awo ndisimbula eggwanga eryo, nga nsimbula era nga ndizikiriza, bw'ayogera Mukama.