Jeremiah 12:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wabasiga mu ttaka, ne basimba emirandira; baakula ne bassaako ebibala; bulijjo tobava ku mimwa, sso ng'emitima gyabwe ogiri wala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wabasimba, emirandira ne ginywera, bakula ne baleeta ebibala. Tova ku mimwa gyabwe bulijjo wadde ng’oliwala n’emitima gyabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Wabasimba, weewaawo, basimbye emmizi ne bamera; weewaawo, ne babala n'ebibala; oli kumpi na kamwa kaabwe, naye oli wala n'emitima gyabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabasimba ne bamera, ne beeyongera okukula era ne babala ebibala. Bakwogerako bulijjo, naye tebakufaako
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Wabasimba, weewaawo, basimbye emmizi; bamera, weewaawo, babala ebibala: oli kumpi mu kamwa kaabwe, oli wala n'emmeeme yaabwe.