Jeremiah 12:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ggwe, ayi Mukama, ommanyi, ondaba ne wekenneenya omutima gwange kye gukulowoozaako. Basikambule ng'endiga ez'okutta, bategekere olunaku olw'okusanjagibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate ng’ommanyi Ayi Mukama Katonda, ondaba era otegeera bye nkulowoozaako. Sika otwale abasajja bano ababi ng’endiga ezigenda okuttibwa. Bategekere olunaku lwe balisanjagirwako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ggwe, ayi Mukama, ommanyi; ondaba n'okema omutima gwange bwe gufaanana gy'oli. Basike ng'endiga ez'okusalibwa, obategekere olunaku olw'okuttirwako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye nze ommanyi, ayi Mukama. Olaba bye nkola, era omanyi bwe nkwagala. Sika abantu abo ng'endiga ez'okusalibwa. Bakuume butiribiri okutuusa ku lunaku olw'okuttirwako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ggwe, ai Mukama, ommanyi; ondaba n'okema omutima gwange bwe gufaanana gy'oli: basike ng'endiga ez'okusalibwa, obategekere olunaku olw'okuttirako.