Jeremiah 12:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensi eneekungubaga kutuusa wa, n'omuddo gwonna ogw'ettale okuwotoka? Olw'okubeera obugwenyufu bw'abo abagisulamu, ensolo n'ebinyonyi bisaanyiziddwawo. Anti bagamba mbu: “Katonda taliraba nkomerero yaffe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensi erikoma ddi okwonooneka, n’omuddo mu buli nnimiro okukala? Kubanga abo abali mu nsi bakozi ba bibi, ensolo n’ebinyonyi bizikiridde, kubanga abantu bagamba nti, “Katonda taalabe binaatutuukako.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ensi erituusa wa okuwuubala, era omuddo gwonna ogw'oku ttale ne guwotoka? Kuba olw'obubi bw'abo abagirimu, ensolo n'ennyonyi kyeziva zimalibwawo; kubanga abasajja bagamba nti, “Katonda taliraba nkomerero yaffe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensi erituusa wa okukala n'omuddo gwonna okuwotoka? Ebisolo n'ebinyonyi bifa olw'obubi bw'abantu baffe. Ate bo nga bagamba nti: “Katonda talaba bye tukola.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ensi erituusa wa okuwuubaala, n'emiddo egy'omu nsi yonna ne giwotoka? olw'obubi bw'abo abagirimu ensolo kyeziva zimalibwawo, n'ennyonyi; kubanga bayogera nti Taliraba nkomerero yaffe ya luvannyuma.