Jeremiah 12:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Obanga bw'odduse n'ab'ebigere, bakukooyezza, onoosobola otya okuwakana n'embalaasi? Era obanga weekengera mu nsi ey'eddembe, kale olikola otya mu mbirabira z'oku Yorudani?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’oba owakana n’abaddusi b’embiro n’oggwaamu amaanyi oyinza otya okudduka n’embalaasi? Obanga mu nsi entereevu weesitadde n’ogwa bugwi, onoosobolayo otya mu nsiko y’oku Yoludaani?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Oba ng'oddukidde wamu n'abatambula n'ebigere, naye ne bakukooyesa, kale oyinza otya okuwakana n'embalaasi? Oba mu nsi ey'emirembe ogudde, olikola otya mu bibira bya Yoludaani?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Yeremiya, oba ng'oddukidde wamu n'ab'ebigere n'okoowa, kale onoosobola otya okuddukira awamu n'abali ku mbalaasi? Oba tosobola kuyimirira watereevu, olikola otya mu lusaalu lwa Yorudaani?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oba ng'oddukidde wamu n'abatambula n'ebigere ne bakukooyesa, kale oyinza otya okuwakana n'embalaasi? era newakubadde nga weegolodde mu nsi ey'emirembe, naye olikola otya mu malala ga Yoludaani?