Jeremiah 12:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale baganda bo, ennyumba yo yennyini, bakuliddemu olukwe; bakukubidde enduulu. Tobeesiga ne bwe banaakwogerako ebirungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne baganda bo n’ab’omu nnyumba ya kitaawo nabo bennyini bakwefuukidde, beegasse ku abo abawowoggana nga bakulangiriza. Tobeesiga wadde nga bakwogerako bulungi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga era ne baganda bo n'ennyumba ya kitaawo, era nabo bakulimbyerimbye; bonna bakukabirira, tobakkirizanga ne bwe bakugamba ebigambo ebirungi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baganda bo bennyini n'ab'ekika kyo, bakuliddemu olukwe, nabo beetabye n'abakuyigganya. Tobakkiriza ne bwe bakugamba ebigambo ebirungi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga era ne baganda bo n'ennyumba ya kitaawo, era nabo bakulimbyelimbye; era nabo balangirizza ennyuma wo: tobakkirizanga ne bwe bakugamba ebigambo ebirungi.