Jeremiah 13:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino kye yaŋŋamba: “Genda ogule omusipi ogw'olugoye ogwesibe mu kiwato; kyokka togunnyika mu mazzi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati Mukama bwe yaŋŋamba nti, “Genda ogule olukoba olwa linena olwesibe mu kiwato kyo, naye tolunnyikanga mu mazzi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati Mukama bwe yaŋŋamba nti, “Genda weegulire ekimyu eky'olugoye, okyesibe mu kiwato kyo, so tokinnyika mu mazzi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Genda weegulire ekimyu eky'olugoye, okyesibe mu kiwato, naye tokyozaamu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati Mukama bwe yaŋŋamba nti Genda weegulire olukoba lw'eddiba, weesibe mu kiwato kyo, so tolunnyika mu mazzi.