Jeremiah 13:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu abo ababi abaagaana okuwulira ebigambo byange, abagoberera obukakanyavu bw'omutima gwabwe, abanoonya balubaale abagwira ne babasinza n'okubaweereza, balifaanana ng'omusipi ogwo, nga tebalina kye bagasa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bano aboonoonyi abagaana okukwata ebigambo byange, abagoberera obujeemu bw’emitima gyabwe ne bagoberera bakatonda abalala okubaweereza n’okubasinza, bajja kuba ng’olukoba olwo olutaliiko kye lugasa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bano ababi bagaana okuwulira ebigambo byange, era batambulira mu bukakanyavu bw'omutima gwabwe, era bagoberedde bakatonda abalala okubaweerezanga n'okubasinzanga, balibeerera ddala ng'ekimyu eky'olugoye kino ekitaliiko kye kigasa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu abo ababi, baagaana okuwulira bye mbagamba. Baagoberera obukakanyavu bw'emitima gyabwe, ne basinza era ne baweereza balubaale. Kale baliba ng'ekimyu ekyo, ekitakyaliko kye kigasa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu bano ababi abagaana okuwulira ebigambo byange, abatambulira mu bukakanyavu bw'omutima gwabwe, era bagoberedde bakatonda abalala okubaweerezanga n'okubasinzanga, balibeerera ddala ng'olukoba luno olutaliiko kye lugasa.