Jeremiah 13:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti ng'omusipi bwe gwesibibwa mu kiwato ky'omuntu, nange bwe nali nnywerezza ntyo ennyumba ya Yisirayeli yonna n'ennyumba yonna eya Yuda ku nze, Omukama y'agamba, balyoke babeere bantu bange, linnya lyange, ttendo lyange era kitiibwa kyange. Naye tebaawulira.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ng’olukoba bwe lunywerera mu kiwato ky’omuntu, bwe ntyo bwe nzija okwagala ennyumba ya Isirayiri yonna n’eya Yuda zinneesibeko,’ bw’ayogera Mukama, ‘balyoke babeere abantu bange, bagulumize erinnya lyange n’ettendo; naye bo ne batawulira.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kuba nga ekimyu eky'olugoye bwe kyegatta n'ekiwato ky'omuntu, bwe ntyo nange bwe nneegasse n'ennyumba yonna eya Isiraeri n'ennyumba yonna eya Yuda,” bw'ayogera Mukama, “balyoke babeerenga gye ndi eggwanga era erindetera ettendo era ne kitiibwa: naye ne batayagala kuwulira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ng'ekimyu bwe kyekwatira ddala ku kiwato ky'omuntu, bwe kityo bwe nayagala abantu b'omu Yisirayeli n'ab'omu Buyudaaya okwekwatira ddala ku Nze, balyoke babenga bantu bange, baleetere erinnya lyange ettendo n'ekitiibwa. Naye ne batayagala kuwulira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kuba olukoba nga bwe lwegatta n'ekiwato ky'omuntu, bwe ntyo bwe nneegasse nange ennyumba yonna eya Isiraeri n'ennyumba yonna eya Yuda, bw'ayogera Mukama; balyoke babeerenga gye ndi eggwanga era erinnya era ettendo era ekitiibwa: naye ne batayagala kuwulira.