Jeremiah 13:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Abantu abo bagambe nti: ‘Omukama Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba nti: “Buli ndyanga ya vviini ejjuzibwe evviini.” ’ Bagenda kukuddamu nti: ‘Tetumanyi nga buli ndyanga ya vviini ejjuzibwa vviini?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bagambe bw’oti nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri, buli kita kiba kya kujjuza nvinnyo.’ Nabo balikuddamu nti, ‘Tetumanyi nga buli kita kiba kya kujjuza nvinnyo?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kyoliva obagamba ekigambo kino nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti, Buli kita kirijjula omwenge.’ Nabo balikugamba nti, Tetumanyi nga buli kita kirijjula omwenge?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'aŋŋamba nti: “Yeremiya, gamba abantu b'omu Yisirayeli nti: ‘Buli kita kijjuzibwa omwenge.’ Bajja kukuddamu nti: ‘Tetumanyi nga buli kita kijjuzibwa omwenge?’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyoliva obagamba ekigambo kino nti Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri nti Buli kita kirijjula omwenge nabo balikugamba nti Tetumanyi nga buli kita kirijjula omwenge.