Jeremiah 13:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ŋŋenda kubawumiza omu ku munne, abazadde n'abaana baabwe wamu,” Omukama y'agamba. Sirisaasira, sirisonyiwa, siriddiramu mbu ndeke kubazikiriza.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era buli omu alikoonagana ne munne, abalenzi ne bakitaabwe, bw’ayogera Mukama. Siribalumirwa, wadde okubaleka oba okubakwatirwa ekisa, ndibazikiriza.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndibatandagira omuntu ne munne, bakitaabwe ne batabani baabwe wamu, bw'ayogera Mukama. Sirisaasira so sirisonyiwa so sirikwatibwa kisa, obutabazikiriza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo ndyoke mbaaseeyase nga mbatomereganya bonna, abato n'abakulu. Sirisaasira, sirisonyiwa wadde okukwatirwa ekisa, wabula okubazikiriza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndibatandagira omuntu ne munne, bakitaabwe ne batabani baabwe wamu, bw'ayogera Mukama: sirisaasira so sirisonyiwa so sirikwatibwa kisa, nneme okubazikiriza.