Jeremiah 13:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mumuwe ekitiibwa Omukama, Katonda wammwe nga tannaleeta kizikiza, nga n'ebigere byammwe tebineesittala ku nsozi ezikutte enzikiza. Musuubira ekitangaala, naye agenda kukifuula nzikiza ekutte, alikifuula kazigizigi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda wo mugulumize nga tannaleeta kizikiza, nga ebigere byo tebinneesittala ku nsozi ezikutte ekizikiza. Musuubira ekitangaala, naye ajja okukifuulamu ekisiikirize eky’okufa akikyuse kibe ekizikiza ekikutte ennyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mumuwe Mukama Katonda wammwe ekitiibwa, nga tannaleeta kizikiza era ng'ebigere byammwe tebinnaba kwesittalira ku nsozi ez'ekizikiza; era nga bwe musuubira omusana, n'agufuula ekisiikirize eky'okufa n'aguddugaza okuba ekizikiza ekikutte.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muwe ekitiibwa Mukama Katonda wammwe, nga tannaleeta kizikiza, ne mwekoona ku nsozi, era nga n'ekitangaala kye musuubira, tannakifuula nzikiza ekutte.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)