Jeremiah 13:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bwe mutaawulire, ŋŋenda kukaabira mu nkiso olw'olunkulu lwammwe, amaaso gange galikaaba ebitakaabika, ne gafukumula amaziga, kubanga eggana ly'Omukama litwaliddwa mu busibe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe mutaafeeyo, emmeeme yange eneekaabira mu kyama olw’amalala gammwe; amaaso gange gajja kukaaba nnyo nnyini gakulukuse amaziga era ekisibo kya Mukama kijja kuwambibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe mutalikkiriza kuwulira emmeeme yange erikaaba amaziga kyama olw'amalala gammwe; n'amaaso gange galikaaba nnyo amaziga, ne gakulukuta amaziga, kubanga ekisibo kya Mukama kikwatiddwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe munaagaana okuwulira, nja kukaabira mu kyama olw'okwekulumbaza kwammwe. Nja kukaaba nnyo nkulukuse amaziga, kubanga abantu ba Mukama batwaliddwa nga basibe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe mutalikkiriza kuwulira emmeene yange erikaaba amaziga kyama olw'amalala gammwe; n'amaaso gange galikaaba nnyo amaziga, ne gakulukuta amaziga, kubanga ekisibo kya Mukama kikwatiddwa.