Jeremiah 13:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mugambe kabaka ne nnamasole nti: “Mukke mutuule wansi, kubanga engule yammwe ey'ekitiibwa ebavudde ku mutwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Gamba kabaka era ne namasole nti, “Mukke muve ku ntebe zammwe ez’obwakabaka, kubanga engule zammwe ez’ebitiibwa zijja kugwa okuva ku mitwe gyammwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Gamba kabaka ne nnamasole nti, “Mwetoowaze mutuule wansi; kubanga ebiremba byammwe bikkakkanye, n'engule ey'ekitiibwa kyammwe evudde ku mitwe ggyammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'aŋŋamba nti: “Gamba kabaka ne nnamasole nti: ‘Muwanuke ku ntebe zammwe, kubanga engule zammwe ennungi zivudde ku mitwe gyammwe.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Gamba kabaka ne nnamasole nti Mwetoowaze mutuule wansi; kubanga ebiremba byammwe bikkakkanye, engule ey'ekitiibwa kyammwe: