Jeremiah 13:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebibuga by'emaserengeta biggaddwawo; tewali wa kubiggula, Yuda yenna awaŋŋangusiddwa, yenna atwaliddwa ddala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebibuga by’e Negebu biggaddwawo, tewali n’omu anaabiggulawo; Yuda yonna yaakutwalibwa mu buwaŋŋanguse, yonna yaakutwalibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebibuga eby'obukiikaddyo biggaddwawo, so tewali wa kubiggulawo, Yuda atwaliddwa yenna nga musibe; yenna atwaliddwa ddala nga musibe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebibuga eby'omu bukiikakkono bizingiziddwa, tewali ayinza kuwaguza kubituukako. Abantu b'omu Buyudaaya bonna batwaliddwa nga basibe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebibuga eby'obukiika obwa ddyo biggaddwawo, so tewali wa kubiggulawo: Yuda atwaliddwa yenna nga musibe; yenna atwaliddwa ddala nga musibe.