Jeremiah 13:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Yimusa amaaso olabe abava emambuka. Eggana eryakukwasibwa liri ludda wa, endiga ezaali ettendo lyo?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muyimuse amaaso gammwe mulabe abo abava mu bukiikakkono. Kiruwa ekisibo ekyabaweebwa, endiga ezaabeeyinuzanga?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Muyimuse amaaso gammwe mulabe abo abava obukiikakkono.” Kiri ludda wa ekisibo kye waweebwa, ekisibo kyo ekirungi?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yerusaalemu, laba! Abalabe bo bajja, nga bava mu bukiikakkono. Abantu bo abaakukwasibwa okulabirira, abantu bo abakweyagaza baluwa?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muyimuse amaaso gammwe mulabe abo abava obukiika obwa kkono: ekisibo kye waweebwa kiri ludda wa, ekisibo kyo ekirungi?