Jeremiah 13:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oligamba ki bw'alikussaako nga bakama bo abo bennyini be weeyigiririza okuba mikwano gyo? Okulumwa tekulikukwata ng'okw'omukazi ng'azaala?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muligamba mutya Mukama bw’alibawaayo okufugibwa abo be mwali mutwala nga ab’omukago? Temulirumwa ng’omukazi alumwa okuzaala?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olyogera otya, bwe balikuteekako okukufuga abo ggwe kennyini be wayigiriza okuba mikwano gyo? Obuyinike tebulikukwata ng'omukazi alumwa okuzaala?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oligamba otya, ng'abo be wayitanga mikwano gyo bakuwangudde, era nga be bakufuga? Toliba mu buyinike ng'omukazi alumwa okuzaala?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olyogera otya, bw'alikuteekako mikwano gyo okuba omutwe, kubanga ggwe kennyini ggwe wabayigiriza okukukola obubi? obuyinike tebulikukwata ng'omukazi alumwa okuzaala?