Jeremiah 13:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'alyebuuza nti: ‘Lwaki bino bingwiridde?’ Lwa bibi byo ebingi, kubanga emivuluya gyo gyakwambulwako n'okolebwako eby'obukambwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era bwe weebuuza nti, “Lwaki kino kintuseeko?” Olw’ebibi byo ebingi engoye zo kyezivudde ziyuzibwa, era omubiri gwo ne gubonerezebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bw'onooyogeranga mu mutima gwo nti, Lwaki ebigambo bino byonna binzijjidde? Bizze olw'okweyongera kw'obutali butuukirivu bwo, engoye zo zibikuddwa, era oboonaabona n'obukambwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Weebuuza akabi ako konna kyekavudde kakutuukako, ne bakubikkula engoye zo, ne bakuwemula? Kakutuuseeko kubanga ekibi kyo kinene nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bw'onooyogerera mu mutima gwo nti Ebigambo bino binjijiridde lwaki? olw'obutali butuukirivu bwo kubanga bungi, ebirenge byo kyebivudde bibikkulwako, n'ebisinziiro byo bigirirwa ekyejo.