Jeremiah 13:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyendiva nno mbasaasaanya ng'essubi bwe likolebwa empewo ey'omu ddungu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ndibasaasaanya ng’ebisusunku ebifuuyibwa empewo eva mu ddungu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyendiva mbasaasaanya ng'ebisasiro bwe bisaasaanyizibwa embuyaga ez'omu ddungu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama kyaliva abasaasaanya mmwe, ng'empewo eva mu ddungu bw'esaasaanya ebisusunku.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyendiva mbasaasaanya ng'ebisasiro ebivaawo olw'embuyaga ez'omu ddungu.