Jeremiah 13:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ogwo gwe mugabo gwammwe, ekitundu ky'ekipimo kye mbageredde,” Omukama y'agamba, “kubanga nze mwanneerabira, ne weesiga obulimba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Guno gwe mugabo gwo gwe nakupimira,” bw’ayogera Mukama, “kubanga wanneerabira ne weesiga bakatonda ab’obulimba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Guno gwe mugabo gwe nnakugerera, bw'ayogera Mukama; kubanga wanneerabira ne weesiga obulimba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Agambye nti ekyo kye kiribatuukako. Ekyo ky'asazeewo okubakolako mmwe, kubanga mumwerabidde, ne mwesiga balubaale.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kano ke kalulu ko, omugabo gwe nnakugerera, bw'ayogera Mukama; kubanga wanneerabira ne weesiga obulimba.